
Zubair Family Yeegasse ne Afri-Talent mu Kajjampuni, Katikkiro Abeebazizza
- ByAdmin --
- Apr 02, 2024 --
Kamalabyona wa Buganda, Charles Peter Mayiga atenderezza omulimu ogukolebwa bannabitone nga bayita mukuzannya katemba abuulirira n’okusomesa abantu ba Kabaka obuwangwa n'ennono zaabwe kyagamba nti kitaasizza eggwanga okusigalamu obuntubulamu obwolubeerera. Katikkiro abadde ku Bat Valley Theatre bannabitone aba Afri-Talent, Zubair Family n’abayimbi ab’enjawulo bwebabadde batongoza omuzannyo gwabwe "Akajjampuni"