
Wuuno Omulezi Yakola Obubnero 6 mu PLE naye Talina Nsimbi Zimwongerayo
- ByAdmin --
- Feb 13, 2024 --
Ekimu ku bizzizza ebyenjigiriza by’eggwanga emabega bwe bwavu obutasobozesa bazadde kuweerera baana babwe kweyongerayo n’emisomo gyabwe newankubadde nga bangi baba bayise bulungi. Mubano mwemuli Vincent Twinomatsiko eyakula ne jjajja we era eyamuweerera okumalako ekibiina eky’omusanvu nafuna obubonero mukaaga mu bigezo by’akamalirizo ebya P.7 ebyafulumizibwa gyebuvuddeko wabula mu kiseera kino atudde waka olw’okubulwa ensimbi ezimwongerayo okusoma newankubadde nga banne batandise okusoma mu siniya esooka olunaku olwaleero.