Waliwo Bannakibiina kya NRM Abatali Bamativu n’Engeri Pulezidenti Gyakozeemu Emirimu
- ByAdmin --
- Jul 04, 2024 --
AbawagizI b’ekibiina ki NRM bagamba nti wadde nga waliwo ebikujjuko eby’okwebaza Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven olw’ebyo byakoledde eggwanga naye akyalina olugendo luwanvu okulwanyisa obuli bw’enguzi obufumbekedde mu bitongole bya gavumenti. Abawagizi ba NRM bagamba nti singa enguzi terwanyisibwa ekibiina kyolekedde olusozi gambalagala okuddamu okufuna obuwagizi mu ggwanga.