
UNRA Etandise Okukola Oluguudo lwe Masaka Olwabomose
- ByAdmin --
- Apr 23, 2024 --
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo ki UNRA kitandise enteekateeka ez’okuddaabirizza oluguudo lwe Masaka olwabomose olunaku lw’eggulo mu bitundu bye Kyengera . Abakulu mu kitongole kino bagumizza abantu abakozesa oluguudo luno nti bagenda kulumaliriza mangu ddala era webunaatuukira olunaku lw’enkya lujja kuba luzzeemu okukozesebwa. Embeera y’okuggala oluguudo luno enkozesa abantu bangi abalukozesa era bangi batambuza bigere okugenda ku mirimu naddala abasula mu bitundu ebiriraanye e Kyengera.