Uganda Esanyukidde Okulondebwa Kw’omulamuzi Ssebutinde

Oluvanyuma lw’okulondebwa kw’omulamuzi Julia Ssebutinde ku kifo ky’omumyuka wa pulezidenti wa kkooti yensi yonna egaba obwenkanya oba giyite International Court of Justice bannamateeka ne banna Uganda abatali bamu bamuyozaayozeza okutuuka ku kkula lino lyebagamba nti kiweeseza Uganda ekitiibwa. Bano era omulamuzi Ssebutinde bamwogeddeko ng’omulamuzi atekkiranya mu ntambuza y’emulimu gye era asalawo nga tasinzidde ku kusanyusa abanji wabula asinziira ku mateeka gaasinga okukkiririzamu


https://www.youtube.com/watch?v=MZoHaImTvv8

LEAVE A COMMENT