
Uganda Cranes yetegekera Algeria, Omupiira Gugenda Kuzannyibwa Namboole Enkya
- ByAdmin --
- Jun 10, 2024 --
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes esuze bulindaala okwambalagana ne Algeria mu mpaka z’okusunsulamu amawanga agagenda okwetaba mu kikopo ky’ensi yona ekya FIFA World cup Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku kisaawe kya Mandela National stadium e Namboole.