
UCC Erabudde Abakulira Ebitongole by’Amawulire, Baryomunsi Abasabye Okusengejja Ebifulumizibwa
- ByAdmin --
- Apr 03, 2025 --
Abakulira emikutu gy’amawulire basabiddwa okukozesa obukugu obusaanidde mu kaseera kano ketulimu ak’ebyobufuzi obutamala gafulumya mawulire nga tebasooose kugasengejja nti yenna anaava ku mulamwa yeenenyanga yekka. Okulabula kuno kukoleddwa minisita w’ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi mukulayiza obukulembeze obuggya obw’ekitongole ki UCC nga bano beyamye okunyweza ebyempiliziganya kwossa okukuuma omutindo gwa UCC.