Ttiiya Ggaasi Anyoose mu Bawagizi ba Kyagulanyi, Poliisi Emulemesezza Okutuuka e Kamuli

Olwaleero omukulembeze w’ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu azzeemu okutalaaga eggwanga nga atandikidde mu bitundu bye Kamuli mu Busoga Bw’abadde asimbula, Kyagulanyi asabye abantu batambula nabo okukuuma empisa n’emirembe mu bitundu gyebalaga era ategeezezza nti w’atandikidde olugendo lwe nga Poliisi tenabaddamu ku bbaluwa gyebabawandiikira nga babategeeza ku kutambula kuno. Bano basimbudde ku kitebe ky’ekibiina e Kavule wabula mu bitundu ebimu gy’ayise amasasi n’omukka ogubalagala bikubiddwa mukusika omuguwa wakati w’abawagizi be n’abebyokwerinda ababadde bagezaako okubatangira okuyita mu makubo ag’enjawulo.


https://www.youtube.com/watch?v=tTTEKeRpM_s

LEAVE A COMMENT