
Ttiimu ya Gomba Efunye Obuvuggirizi, Ekyaama Enterprises Egenda Kugiteekamu Ssente
- ByAdmin --
- Jun 25, 2025 --
Essaza Gomba lyanjudde Ekyaama Enterprise okuvujjirira ttiimu y’Essaza lino eri mu kuvuganya mu mpaka ez’Amasaza ga Buganda ez’omwaka guno. Ekyaama Enterprises egenda kuteeka obukadde bw’ensimbi 20 mu ttiimu eno.