
Ttabamiruka wa Buddu PEWOSA, Bammemba Bakubye Ttooci ku Bituukiddwako
- ByAdmin --
- Apr 01, 2025 --
SACCO ya Buddu CBS PEWOSA etuuzizza ttabamiruka 6 aggalawo omwaka mwe banjulidde bye batuuseeko omuli n'ekizimbe galikwoleka Ssaabasajja Kabaka kye yasiimye kiyitibwe MEERU CBS PEWOSA. Minisita w'Obwakabaka owa Bulungibwansi n’Obutondebwensi, Amazzi n'Ekikula ky’Abantu Hajjati Mariam Nkalubo Nasejje yakiikiridde Minisita w'Obwakabaka ow'Obwegassi Hajji Hamis Kokomo.