
Ttabamiruka w’Olulyo Olulangira, Ssaabalangira Yeekokkodde Bannakigwanyizi
- ByAdmin --
- Jan 20, 2025 --
Ssaabalangira wa Buganda, Godfrey Musanje Kikulwe yekokodde bannakigwanyizi abasusse okutunda n’okubba ettaka ly’amasiro nti balabe ba Buganda abeetaaga okulwanyisiza ddala. Ssaabalangira okwongera bino asinzidde ku kigango kye e Namirembe mu ggombolola ya Mukulu wa kibuga Mengo - Lubaga mu ssaza Kyaddondo bwabadde ku mukolo gw’okumanyagana ne ttabamiruka w’abavubuka abeegattira mu kibiina ki Olulyo Olulangira Youth Network.