Tayebwa Atabukidde Ababalirizi b’Ebitabo, Ayagala Bakulembeze Amazima nga Bakola
- ByAdmin --
- Nov 14, 2024 --
Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa ayambalidde ababazi b’ebitabo mu ggwanga olw’obwesimbu obubaweddemu ensangi zino ekikalubizza olutalo lw’okulwanyisa enguzi mu ggwanga Ono abadde aggulawo ttabamiruka w’ababazi b’ebitabo abegattira mu kibiina ki Association of Chartered Certified Accountants - ACCA ku Speke Resort e Munyonyo