
Tayebwa Akubirizza Bannaddiini Okubeera Ekitundutundu ku Nkulaakulana Y'eggwanga
- ByAdmin --
- Mar 09, 2024 --
Bannaddiini bakubiriziddwa okubeera ekitundutundu ku nkulaakulana y’eggwanga nga bayigiriza abantu okwetandikirawo emirimu okusobola okwegobako obwavu. Bino byogeddwa amyuka omukubiriza wa Palamenti Thomas Tayebwa bwabadde yeetabye ku mukolo gw’okujjukira eyali Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Joseph Nakabaale Kiwanuka.