Ssettendekero wa Muteesa I Asajjakudde, NCHE Egikwasizza ‘Charter’ mu Butongole
- ByAdmin --
- Jun 13, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu butongole akwasiddwa ebbaluwa ekakasa okusajjakula kwa Ssetendekero w’Obwakabaka Mutesa 1 Royal University oba kiyite “Charter” oluvanyuma lw’omutindo gwayo kwebangulira abayizi okwongera okulinnya. Ekitongole ekirungamya amatendekero agawaggulu ki National Council for Higher Education gyebuvuddeko ky’akakasa Mutesa 1 Royal University mu lubu lwa Ssetendekero ezisajjakudde mu ggwanga era abakulu mu kitongole kino beyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’enjigiriza mu bantu be