Ssenkulu wa KCCA Atandikidde mu Ggiya , Abatembeeyi Leero Basiibye mu Ddukadduka
- ByAdmin --
- Sep 30, 2024 --
Abasirikale b’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki Kampala Capital City Authority (KCCA) nga kikolera ku biragiro bya Ssenkulu wa KCCA ow’ekiseera, Frank Rusa bakedde kugobagana na batembeeyi mu Kampala nga babasindiikiriza okudda mu butale. Abantu bangi ebintu byabwe biwambiddwa nga waliwo n’abakwatiddwa nga bagezaako okutangira abatwala eby’amaguzi byabwe. Yo KCCA egamba ebikwekweto bino bikyagenda mu maaso okutuusa nga abatembeeyi bavudde ku nguudo.