Ssenkulu wa IRA Atangaazizza ku Yinsuwa Z'ebidduka

Ssenkulu w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulungamya ku nkola za yinsuwa mu ggwanga ki Insurance Regulatory Authority Al-haj Ibrahim Lubega Kaddunabbi agumizza bannansi abalina ebidduka era abasasula yinsuwa y'ebidduka wamu n'abakulu ba kampuni za yinsuwa nga gavumenti bwetagenda kwenyigira mu kukungaanya ssente nga bakukirekera abantu ssekinoomu okusalawo kampuni mwasasula. Al-haj Lubega Kaddunabbi agamba nti ababaka ba Palamenti okutuuka okumuyita okunyonyola ku nsonga za yinsuwa, balina baweereddwa obubaka obukyamu nti ekitongole kyatwala ki IRA kyekikungaanya ssente za Motor Third Party.


https://www.youtube.com/watch?v=VrGrT6OlOv8

LEAVE A COMMENT