
Ssempijja Atuyaanidde mu Kakiiko ka Palamenti, Ensonga Z'okuwamba Abantu Tazimanyiiko
- ByAdmin --
- Mar 07, 2024 --
Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti ak’eddembe ly’obuntu batadde ku nninga minisita w’ensonga z’ebyokwerinda n’abakulu mu ggye lya UPDF banyonnyole ensonga zabannamagye abasusse okwenyigira obutereevu mu by’obufuzi nga bakyaweereza eggwanga. Minisita Vincent Bamulangaki Ssempijja asanze akaseera akazibu okunyonnyola ku nsonga za bannamagye nendala ezinokoddwayo omubadde emmotoka z’amagye ezisusse okuwamba abantu.