Ssaabasumba Ayagala URA Erondoole Ensimb z’Omuwi w’Omusolo
- ByAdmin --
- Sep 24, 2024 --
Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere asoomoozezza abaddukanya ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu ggwanga ki Uganda Revenue Authority okulondoola ensaansaanya ya Ssente z'omuwi w'omusolo nti kyakuyambako abantu okufuna obwagazi bw'okuwa omusolo mu ggwanga. Ssaabasumba Ssemogerere okwogera bino abadde mu nsisinkano ne Ssenkulu wa URA John Musinguzi e Lubaga n’ekigendererwa eky’okunyweza enkolagana y'Ekelezia ne URA n’okusomesa abantu ku bulungi bw’okuwa omusolo