Ssaabasajja Kabaka Asiimye Abasiraamu Okumalako Ekisiibo Obulungi
- ByAdmin --
- Apr 08, 2024 --
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’ayagaliza abasiraamu n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu Eid Al Fitr ennungi era ey’emirembe. Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eid busomeddwa Minisita w’Amawulire, okukunga era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke.