Ssaabasajja Akungubagidde Owek. Haji Sseguya
- ByAdmin --
- Feb 06, 2024 --
Ssaabasajja KabakaC Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obuweereza bw’Okwekitibwa. Hajji Ibrahim Sseguya abadde omukiise mu lukiiko lwa Buganda eyavudde mu bulamu bwensi oluvanyuma lw’okumala akabanga nga atawaanyizibwa ekirwadde kya kkookolo. Ssaabasaja Kabaka asiimye omugenzi olw’okukolerera ennyo Obwakabaka era abadde omuwulize eri Nnamulondo ng’obubaka bwe busomeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Dr. Prof. Hajji Twaha Kawaase Kigongo.