
Ssaabasajja Ajjanjabye Abantu be e Ssingo, Abantu Bangi Bajjanjabiddwa ku Bwereere
- ByAdmin --
- Mar 12, 2025 --
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu bonna mu Buganda okujjumbira okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya akalabise nga mu kiseera kino kongedde okuwanika amatanga. Mu bubaka bwatiise Omulangira David Kintu Wasajja mu kuggulawo olusiisira lw’ebyobulamu mu ssaza Ssingo, Ssemunywa agambye nti abantu okwekebeza okumanya webayimiridde n’okufuna obujanjabi kijja kuyambako nnyo mu kulwanyisa akawuka kano n’endwadde endala. Mu lusisiira lwebyobulamu luno abantu abasoba mu 20,000 bajjanjabiddwa ku bwereere. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI