Ssaabaminista Nabbanja Yeebazizza Ekitongole ki AVIS, Agamba Kiwadde Emirimu Abavubuka
- ByAdmin --
- Aug 22, 2024 --
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja atenderezza gavumenti ya Italy n’ekitongole ki AVIS mu Uganda olw’omulimu ogw’ettendo gw’ekikola okutendeka abavubuka okulaba nga bafuna obukugu mu mirimu egyenjawulo n’okukola obutaweera okwegobako nawookeera w’obwavu. Ssaabaminisita Nabbanja bino abyogeredde ku mirimu emitongole gy’aliko mu lukungaana oluyindira mu kibuga Rimini mu ggwanga Italy.