Ssaabaminisita Nabbanja Atongozza Omulimu gw’Okuzimba Eddwaliro e Kyotera, Awaddeyo Obukadde 10
- ByAdmin --
- Jun 25, 2024 --
Mu kaweefube w'okutumbula eby'obulamu mu ggwanga, Bannaddini babakanye n'eddimu ly'okuzimba eddwaliro ery'omulembe ku kigo kya St. John Baptist Ssanje mu disitulikiti ye Kyotera. Mu nteekateeka eno, Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja awagidde n’obukadde 10 neyeeyama n’okugula amabaati gonna aganaasereka eddwaliro lino nti kubanga lyankizo nnyo mu kutumbula eby’obulamu mu kitundu.