Ssaabaminisita Nabbanja Atongozezza Okukola Oluguudo lwe Nakawuka
- ByAdmin --
- Mar 28, 2024 --
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja Musafiri akalaatidde bannansi naddala abali ku mabbali g'ekkubo obutasiba nkulaakulana yakuzimba nguudo olwa gavumenti okulwawo okubaliyirira. Nabbanja okwogera bino abadde atongoza eddimu ly'okuzimba oluguudo lwa Nakawuka - Kasanje - Mpigi n’asaba abatuuze okukkiriza ekkubo litandike okuzimbibwa nga gavumenti bwekola ku nsonga y'okubaliyirira.