Ssaabaminisita Alabudde Abakozi ba Gavumenti Abebulankanya ku Mirimu Alayidde Okubagoberera

Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja Musafiri alabudde abakozi ba gavumenti abatawa budde mirimu gyabwe ekintu ekizingamya obuweereza eri abantu. Nabbanja agamba nti abasawo mu malwaliro ga gavumenti basussizza okukola mu malwaliro g’obwannannyini ekibalemesezza okuweereza obulungi abantu mu malwaliro ga gavumenti. Bino Ssaabaminisita abyogedde bwabadde asisinkanye Olukiiko lw’abakyala mu ggwanga lu National Women’s Council oluli wansi wa minisitule y’ekikula ky’abantu wakati mu kwetegekera okukuza olunaku lw’abakyala.


https://www.youtube.com/watch?v=Fb5hlC86rr8

LEAVE A COMMENT