
Sipiika wa Buganda n’Akakiiko ke Bakubaganyizza Ebirowoozo ku Ntambuza y’Emirimu
- ByAdmin --
- Jan 28, 2025 --
Akakiiko akakulu ak'olukiiko lwa Buganda akakulirwa Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Owek.Patrick Luwaga Mugumbule katudde enkya ya leero mu Bulange okukuba ttooci mu ngeri omwaka gw'ebyensimbi 2024/2025 gyegutambulamu. Abakiise b’akakiiko kano bateesezza ku nsonga ez’enjawulo n’engeri gyebagenda okutambuzaamu emirimu mu mwaka guno 2025 mu Bwakabaka ku ludda lw'olukiiko lwa Buganda.