
Sipiika Ayimirizza Bunnambiro Eby'okusonyiwa Basigansimbi ssente
- ByAdmin --
- Mar 13, 2025 --
Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among Ayimirizza bunnambiro enteekateeka ya gavumenti ey’okumala gasonyiwa emisolo basigansimbi gyebaba balemereddwa okusasula, ng’agamba nti kino kizza eggwanga emabega. Mu lutuula lwaleero minisitule y’ebyensimbi ebadde eyagala kwanjulira Palamenti musiga nsimbi mulala alina okusonyiyibwa omusolo kyokka nga wabadde w’akayita mbale, nga gavumenti yaakasonyiwa bamusigansimbi omusolo ogubalirirwamu obuwumbi 9.6.