
Sipiika Akatemye Ababaka Aboogera ku Nsonga za Besigye, Tebalina Buyinza Kuteeka Gavumentu ku Kazito
- ByAdmin --
- Feb 06, 2025 --
Minisita w’ensonga za Ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao ayitiddwa abeeko byanyonnyola Palamenti ku lwaki n’okutuusa kati tewali kirabwako nti kyekikoleddwa okussa ekitiibwa mu nsala ya Kkooti ensukkulumu eyayimirizza okuwozesa abantu ba bulijjo mu Kkooti y’Amagye.Ababaka bawuniikiridde amyuka Sipiika bwategeezezza nga Palamenti bwetalina kyeyinza kukola ku by’okutuuza akazito ku gavumenti okuteekesa mu nkola ensala ya Kkooti, ekiggye ababaka b’oludda oluvuganya mu mbeera nga bagambanti tebayinza kutunula butunuzi nga Ssemateeka avvoolebwa