
Rev. Muwonge Yeebazizza Katonda Amusobozesezza Okuweereza Obulungi
- ByAdmin --
- Jan 27, 2025 --
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yennyamidde olw’abantu abaweddemu ensa nebatuuka n’okwogerera abakulembeze babwe ebisongovu n’ekigenderelwa eky’okubaggya ku mulamwa n’okubamalamu amaanyi. Owek. Nsibirwa okwogera bino abadde yetabye mu kusaba okw’okwebaza ku lutikko e Namirembe okwategekeddwa Rev. Samuel Muwonge nga yebaza Katonda olw’okumusobozesa okuweza emyaka 10 nga akulembera ekitongole ekibuliizi ky’enjiri mu bulabirizi bwe Namirembe.