
Pulezidenti Museveni n’Abakulembeze aba Orthodox, Abasabye Okukuuma Obumu n’Emirembe
- ByAdmin --
- May 01, 2025 --
Omukulemebeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yeeyamye okusigala nga ayaniriza bannansi b’amawanga amalala okuva mu Africa singa bagondera amateeka g’eggwanga n’okubaako kyebagatta ku ggwanga lino. Okwogera bino abadde asisinkanye abakulemebeze okuva mu nzikiriza yaba Orthodox mu Uganda ssaako abakungu okuva mu ggwanga lya Ethopia mu maka g’obwa pulezidenti e Nakasero.