Pulezidenti Museveni Atabukidde Abakulira Amasomero ga Gavumenti Lwakusaba Bazadde Nsimbi
- ByAdmin --
- Mar 09, 2024 --
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atabukidde abakulira amasomero ga gavumenti abasaba abazadde ssente kyokka nga gaabwerere ekiwalirizza abaana abawala okuvaamu nga tebannamaliriza misomo gyabwe. Museveni awanjagidde abakyala okwenyigira mu mirimu egyenjawulo balwanyise obwavu obubasibyeko akanyaaga. Bino abyogeredde Katakwi ku mikolo gy’okujaguza olunaku lw’abakyala.