
Pulezidenti Museveni Asuubirwa Okubeera e Kawempe Enkya , Agenda Kuwenja Kalulu
- ByAdmin --
- Mar 11, 2025 --
Abawagizi b'ekibiina ki NRM mu Kawempe North basuze bulindaala okwaniriza Ssentebe w’ekibiina kyabwe era omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubeegattako okukuyega akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North. Pulezidenti Museveni asuubirwa olunaku olw’enkya okukuyegera Faridah Nambi akalulu era olwaleero Ssaabaminisita Robinah Nabbanja n’amyuka Ssentebe w’ekibiina kino Hajji Moses Kigongo.