
Pulezidenti Awadde Ebiragiro , Akaaye ku Nkaayana za Bannannyini Ttaka n’Abasenze,
- ByAdmin --
- Jun 10, 2024 --
Okukuza olunaku lw’abazira olw’omulundi ogwa 35 lukwatiddwa mu disitulikiti ye Gomba mu ggombolola ye Mpenja era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibihabura Museveni yabadde omugenyi omukulu era gyasinzidde n’asuubizza banna Gomba okugonjoola ebizibu byabwe. Ku mukolo guno abantu abawerako baweereddwa emidaali egibeebaza okuweereza obulungi eggwanga lyabwe nga mu bano mubaddemu ne minisita omubeezi owa tekinologiya Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo.