
Pressure 247 Azzeeyo e Luzira, Agenda Kukomawo nga 15 Omwezi Guno
- ByAdmin --
- Mar 08, 2024 --
Kkooti ya Buganda Road nga ekubirizibwa Omulamuzi Ronald Kayizzi ezzeemu okusindika Ibrahim Musana eyeeyita Pressure 247 ku meere e Luzira okutuusa nga 15 omwezi guno ewulire okusaba kwe okw’okweyimirirwa. Kino kiddiridde omuwaabi wa kkooti okusaba omulamuzi okumuwaayo wiiki nnamba yeetegereze empapula zaabo abasabye okumweyimirira.