
Post Bank Eggyeewo Omusolo Gw'okussimu
- ByAdmin --
- Feb 08, 2024 --
Mukawefube w'okwongera okutumbula enkozesa ya ssente ku mutimbagano awatali kuzikwata mu ngalo, Bbank ya gavumenti eya Post Bank ng'ekolaganira wamu ne kampuni y'ebyempuliziganya eya Airtel Uganda, ebisale ebiggyibwa ku bantu ababadde bakozesa Airtel Money okufuna ssente zabwe okuva mu Post Bank biggyiddwawo. Akulira Post Bank Julius Kakeeto agamba nti okuggyawo ebisale ebibadde bisalibwa ku ssente z'omuntu alina “account” ne “Post” ng'azizza ku ssimu, kyakwongera okuyamba abantu okutambuliza emirimu gyabwe ku mutimbagano