
Poliisi N’essundiro Ly’amafuta mu Lubigi ‘NEMA’ Ekyatidde Okubisengula, Abatuuze Bakukkuluma
- ByAdmin --
- Jun 14, 2024 --
Abatuuze abasenguddwa e Nansana mu Lubigi bakubaganye empawa ku kirowoozo ky’okusengulawo Poliisi eri mu Lubigi nga abamu bakiwagira ekyokujisengura ate abalala bagamba nti kyandiviirako obumenyi bw'amateeka mu kitundu. Bino babibuulide omubaka wa Palamenti owa Nansana Munisipaali Wakayima Musoke Nsereko era bagamba nti waliwo abantu baabwe abakwatiddwa olunaku lw’eggulo.