
Poliisi n’Amagye Bizinzeeko Woofiisi za NUP e Kamwokya , Kkansala we Bukasa Tamanyiddwako Mayitire
- ByAdmin --
- May 14, 2024 --
Ekibiina ki National Unity Platform kyetegefu okusonyiwa abakulembeze n’abawagizi bakyo abazze boogerera abakulu mu kibiina kino amafuukuule omuli n’okusiiga ekibiina ettoomi olw’obutakkaanya bwebafuna. Robert Kyagulanyi Ssentamu Pulezidenti wa NUP agamba nti bangi bamutuukiridde nga beenenya byebazze boogerera ku kibiina. Bino abyogeredde ku kitebe ky’ekibiina ki National Unity Platform e Makerere Kavule bw’abadde asisinkanye abawagizi b’ekibiina okuva mu bbeendobendo lye Mukono abakulembeddwamu Betty Nambooze Bakireke.