Poliisi Eyonoonye Kamera ya BBS Terefayina, Ebadde Eremesa Banna FDC Okugenda ku Kitebe kya Kenya mu Uganda
- ByAdmin --
- Aug 06, 2024 --
Abakulembeze b’ekibiina ki FDC e Katonga bakwatiddwa Poliisi mu Kampala bwebabadde batwala ekiwandiiko ku kitebe kya Kenya mu Uganda e Kololo nga bawakanya eky’okukwatira abawagizi babwe e Kisumu mu ngeri emenya amateeka. Bano babadde bakulembeddwamu omubaka wa Minisipali ya Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda wabula Poliisi tebakkirizza kusukka masanganzira ga Golf Course . Wano Omusirikale wa Poliisi asiiwuuse empisa okukakkana nga akubye bannamawulire era kamera ya munnamawulire waffe eyonooneddwa byansusso.