Poliisi Eyongezza Ensimbi eri Oyo Yenna Aleeta Obujulizi Obulaga Luggya Bbosa Tabulah Agambibwa Okutta Omutaka Lwomwa

Ekitongole kya poliisi ekivunanyizibwa ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango kikakasizza nga bwekikyalina ensimbi obukadde kkumi eri omuntu yenna anaagiwa amawulire agakwata ku Lugya Bbosa Tabulah agambibwa okukulemberamu omupango gw’okutta eyali Omutaka w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Daniel Bbosa eyaterekebwa e Mbale mu Mawokoota omwezi oguwedde. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga aweze nti balina obukakafu nti Lugya Bbosa Tabulah yeyaluka olukwe lw’okutta Omutaka omubuze Daniel Lwomwa Bbosa era bakyasamba ensiko okumuwenja yonna gyeyekwese.


https://www.youtube.com/watch?v=KGj8xl7NhDA

LEAVE A COMMENT