
Poliisi Ettukizza ‘Fika Salaama’ , Erabudde Abavugisa Ekimama ku Nguudo
- ByAdmin --
- Sep 03, 2024 --
Abavuzi ba Bbaasi baagala gavumenti etunule mu tteeka erikkiriza abaana abato abaakaweza emyaka e 18 okuvuga emmotoka likyusibwe waakiri bakkirizibwe oluvanyuma lw’okuweza emyaka 25. Abasaabaza abantu bagamba nti abavubuka okukkirizibwa okuvuga emmotoka ky’ekimu kati ku bisinze okuviirako obubenje okuba nga bweyongera ku nguudo ez’enjawulo.