Poliisi Etangaazizza ku kwatibwa kw'agambibwa Okutta Lwomwa, Waakuggulwako Emisango Gy’obutemu

Poliisi akawungeezi k’eggulo yakutte Lugya Bbosa Tabula gwemaze ebbanga ng’enoonya nga kigambibwa yeeyali emabega w’okutemulwa kw’Omutaka w’Ekika ky’Endiga, Lwomwa Eng.Daniel Bbosa eyakubwa amasasi bwe yali anaateera okutuuka mu maka ge e Lungujja mu ggombolola ye Lubaga. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma agamba buli kimu bakimalirizza era essaawa yonna Luggya Tabula waakutwalibwa mu mbuga z’amateeka aggulweko emisango bwegimukka mu vvi akangavvulwe.


https://youtu.be/xuIGNwup8Dg?si=M-LbSfdob7qUEqaR

LEAVE A COMMENT