
Poliisi Etandise Okuteekesa mu Nkola Ekiragiro kya Pulezidenti, Abaserikale 18 Bagenda ku Ggombolola
- ByAdmin --
- Jan 30, 2025 --
Ssaabaduumizi wa Poliisi Abas Byakagaba alangiridde mu butongole nga bwebatandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti eky’okussa abaserikale 18 ku buli ggombolola okulaba nga Bannayuganda batuusibwako obuweereza n’okumalawo obumenyi bw’amateeka. Bwatyo alagidde abaduumizi ba Poliisi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okussa mu bwangu ekiragiro kino mu nkola.