Poliisi Esabye Bannakibiina kya NUP Okuggya Eby'obufuzi mu Kuttibwa kwa Machete

Poliisi esabye bannakibiina kya NUP okuggya eby’obufuuzi mu kuttibwa kwa Lochoto Ambrose Machete agambibwa okukubibwa amasasi agaamuggye mu budde era neetegeeza nti ono yabadde y’ennyigidde mu bubbi bw'ente n’aba Karamoja era teyatiddwa ng’ava kulaba mupiira nga bannakibiina ki NUP bweboogera. Kinajjukirwa nti ku Lw’omukaaga lwa sabbiiti ewedde amawulire gaayitingana nga galaga ng’ono bweyakubwa amasasi agaamuggya mu budde bwe yali ava okulaba omupiira ne banne.


https://www.youtube.com/watch?v=lCO_HwyFTY4

LEAVE A COMMENT