Poliisi Erina Byezudde ku Kufa Kw'omutaka Lwomwa, Abaamusse Amannya Balina ga Kika Kya Ndiga
- ByAdmin --
- Feb 27, 2024 --
Poliisi ekakasiiza nti eriko wetuuse mukunoonyereza ku batemu abasse Omutaka w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Daniel Bbosa olunaku lw’eggulo e lungujja mu gombolola y’e Lubaga. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti batandiise okusamba ensiko okunoonya omutemu eyamazeemu omusubi oluvanyuma lw’abatuuze mu kitundu okufunza banne beyabadde nabo mu butemu buno. Okusinzira ku poliisi abakoze obulumbaganyi buno amannya gabwe ga kiika kya Ndiga Omutaka ky’abadde akulembera era okunoonyereza ku nsonga eno kutandise.