Poliisi Erabudde NUP ku Nteekateeka Zaayo, Bwebataakwatagane nayo Tegenda Kubakkiriza
- ByAdmin --
- May 07, 2024 --
Poliisi etegeezezza eggwanga nti tennafuna kusaba kwonna okw’ekibiina ki National Unity Platform [NUP] ku nteekateeka zaakyo ez’okuddamu okutalaaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuwenja obuwagizi bw’ekibiina. Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga agamba nti okusaba kwokka kwebalina kwa kibiina ki FDC ekiwayi kye Katonga era bakolagannye bulungi nnyo n’ekiwaayi kino mu kutambula kwabwe mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo