Poliisi Erabudde Bannabyabufuzi Abakuma Omuliro mu Bantu , Egamba NEMA Byekola biri mu Mateeka
- ByAdmin --
- Jun 25, 2024 --
Poliisi erabudde bannabyabufuuzi okwewala okutabiikiriiza eby’obufuzi mu bikwekweto ebikolebwa e kitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutondebwensi ekya NEMA byegambye nti biri mu mateeka era nga bannabyabufuuzi basaanye okwewala okuwabya abantu. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti baakwongera okuwa ekitongole ki NEMA obukuumi mu kaweefube waakyo gw’ekirimu okusengula abantu bonna abeesenza mu ntobazi. bino Babyogeredde ku kitebe kya Poliisi e Naggulu mu lukungaana lwa bannamawulire.