Poliisi Ekutte Bakyalakimpadde e Namugongo, Babadde Bagezaako Kukolera mu Nsawo za Bannaabwe
- ByAdmin --
- Jun 04, 2024 --
Poliisi ekutte abavubuka abasobye mu 100 nga batebeerezebwa okwenyigira mu kumenya ebiragiro ebyateereddwawo ssaako okwagala okukolera mu nsawo z’abalamazi ku kijjukizo ky’abajulizi Abakulisitaayo e Namugongo. Abalamazi bakubiriziddwa ku mulundi omulala okubeera obulindaala okusobola okwewala bakyala kimpadde bano.