Poliisi Ekutte Abasamba Bannakampala Emigere ne Bababbako Ebyabwe , Bakutwalibwa mu Kkooti
- ByAdmin --
- May 28, 2024 --
Poliisi etegeezezza nti yakakwata bakyalakimpadde 34 ababadde abagambibwa okutigomya Bannakampala abanyaga abantu nga bakozesa ebijambiya n’okubakuba ensamba ggere. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti bamaze okukwata abakulira akabinja k’abavubuka bano ssaako ababadde babatuma okukola ebikolobero era akadde konna bakusimbibwa mu mbuga z’amateeka.