
Poliisi Ekutte Abantu Babiri Kubigambibwa nti Baawadde Omusajja Obusajja Bw'omwana
- ByAdmin --
- Apr 02, 2024 --
Poliisi ekutte abantu babiri mu wooteeri emu mu kibuga Kampala ku bigambibwa nti baaguzizza omusajja emmere ng’erimu obusajja bw’omuntu. Kino kyaddiridde Lwemigaba Ronald okusanga mu mmere ekintu ekyefaanyiriza ekitundu ky’ekyama eky’omwana omuto kyokka bweyabuuzizza abaagimuwadde nebalemererwa okumuddamu bwatyo kwekuddukira ku poliisi ayambibwe Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigyire agamba nti bamaze okufuna ekintu. ekyogerwako era abakugu batandise okunoonyereza.