Poliisi Ekakasizza Okukwatibwa kwa Pressure
- ByAdmin --
- Feb 20, 2024 --
Poliisi ekakasizza nti erina omuvubuka Ibrahim Musana abadde agufudde omugano okuvvoola n’okutyoboola Nnamulondo nga akozesa omutimbagano. Omuvubuka ono ku mutimbagano abadde yeeyita “Pressure” 24 yakwatiddwa ku Lw’omukaaga lwa sabbiiti ewedde era poliisi etegeezezza nti agenda kuggulwako emisango omuli ogw’okukozesa obubi omutimbagano, okusiga obukyayi n’emirala nga mukadde kano akuumibwa ku kitebe ky’abambega e Kibuli.